Poliisi erwanyisa abazigu b’emmundu eyongedde okukwata abantu, abateeberezebwa okwenyigira mu kubba Pikipiki ssaako n’okutta bannanyinizo mu Kampala n’ebitundu bye Kyoga North.

Mu kikwekweeto, Poliisi yakutte Emmanuel Obang (49), David Engol (40), Daniel Adupa (23) ne Tonny Owony.

Okunoonyereza kulaga nti abantu abo, baludde nga basuula emisanvu mu kkubo, okuteega abantu mu bisenyi, masamba g’ebikajjo, okumpi n’emyala gy’amazzi ssaako n’abamu okwefuula abasaabaze.

Poliisi egamba nti abantu bangi battiddwa nga bafumitiddwa ebiso, okubakuba ennyondo, okubatuga.

Omu ku bantu asembeyo okuttibwa, ye Rogers Wangokho eyazuuliddwa mu ssamba ly’ebikajjo mu ggoombolola y’e Nagojje mu disitulikiti y’e Mukono nga yagibwa ku siteegi y’e Mayangayanga, abasajja abefuula abasaabaze.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi y’e Nagalama, eguddewo famiro omuli obubbi n’obutemu, okunoonyereza ku nsonga ezo.

Onyango era agamba nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso, kwe kusaba abantu bonna abayinza okuba n’amawulire, okuyamba ku Poliisi.

Abakwate, basangiddwa n’ebizibiti omuli Pikipiki ezigambibwa okuba enzibe ne sipeeya wa Pikipiki ez’enjawulo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=kXVaGaOG-K8