Poliisi ekutte abasirikale 4 ku misango gy’omusibe okutoloka.
Abasirikale abakwatiddwa, bakolera ku kitebe kya Poliisi e Moroto.
Omusibe Alfred Mukusu nga mutuuze ku kyalo Natumukasikou ward mu ggoombolola y’e North Division mu Monicipaali y’e Moroto, yakwatiddwa nga 18, May, 2023 ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 10 omutuuze ku kyalo kye kimu.
Kigambibwa olunnaku olw’eggulo ku Ssande ku makya, ku ssaawa nga 2, abasirikale nga bakulembeddwamu ASP Elly Mafundo Nuwagabi, baggye abasibe mu kaduukulu ka Poliisi, okubatwala okulongoosa komapundi.
Mu kiseera kino, omusibe Alfred Mukusu yasobodde okulabiriza abasirikale okusobola okudduka.
Michael Longole, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Moroto agamba nti abasirikale bakwatiddwa ku misango gy’obulagajjavu nga bali ku mirimu.
Aba Poliisi bonna bakolera ku kitebe kya Poliisi e Moroto.
ASP Mafundo, aguddwako emisango gy’okuvaako omusibe okutoloka.
Longole agamba nti wakati mu kunoonyereza, Poliisi eguddewo fayiro okwekeneenya ekyavuddeko omusibe okutoloka ate ng’ali ku misango gya naggomola.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=3PHtNGW7MPM