Poliisi y’e Kajjansi eyingidde mu nsonga okunoonyereza ku muntu attiddwa bw’akubiddwa amasasi mu kiro.
Embeera eno ebadde ku kyalo Kitiko Birongo mu ggoombolola y’e Ndejje, Makindye Sebagabo mu disitulikiti y’e Wakiso.
Attiddwa y’e Mukisa Ronnie myaka 45 munnamateeka ng’abadde akola n’ekitongole ki IBC Advocates ku Namanda Plaza mu Kampala.
Mukisa kati omugenzi, abadde mutuuze ku kyalo Kitiko, Makindye Sebagabo mu Wakiso.
Okunoonyereza kulaga nti Mukisa abadde atera okudda awaka kikeerezi.
Wabula mu kiro ku ssaawa nga 5, Mukisa asoose kutwala mmotoka ekika kya Subaru Legacy namba UBJ 006K mu Pakingi ku nnyumba kw’abadde asula, kwe kuddayo okuggalawo ggeeti.
Mu kiseera kyo, baneyiba bazzeemu okuwulira nga waliwo omuntu akubiddwa amasasi.
Omu ku batuuze, agamba nti waliwo omuntu eyalabiddwa ng’akuba Mukisa amasasi ku mutwe nga amuli kumpi.
Oluvanyuma lw’okutta Mukisa, omutemu yasobodde okweyambisa Pikipiki eyabadde emulindiridde okudduka.
ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti omulambo gwa Mukisa gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.
Owoyesigyire agamba nti Poliisi esobodde okuzuula ebisosonkole bya masaasi 4 era okunoonyereza okuzuula lwaki attiddwa, kutandikiddewo.
Awanjagidde abatuuze abalina amawulire agayinza okuyamba Poliisi okuzuula abatemu, okuvaayo okuyamba.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vswnueIaYxw