Omuyimbi Edrisa Musuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo abotodde ebyama nti waliwo abantu abatandiise okumutisatiisa okwagala okumutta.
Kenzo mu kiseera kino ye Pulezidenti wa Uganda Musicians Federation (UMF), ekibiina ekigatta abayimbi mu ggwanga.
Olunnaku olw’eggulo, Kenzo bwe yabadde ku National Theatre mu kungubagira omulongo Kato Lubwama n’okujjukira ebirungi byakoledde eggwanga lino, yavuddemu ebigambo ebikambwe.
Kenzo agamba nti yafunye amawulire agalaga nti mu Uganda, Radio ne TV z’abasajja abagagga n’okusingira ddala abali mu Gavumenti nga y’emu ku nsonga lwaki balwanyisa eky’okusasulira ennyimba zaabwe ku mikutu gyabwe.
Agamba nti bukya alondebwa nga Pulezidenti wa UMF, waliwo abantu abali mu kubatiisatiisa okubakuba amasasi nti besonyiwe ensonga z’abayimbi.

Kenzo agamba nti wakiri okuttibwa naye bakooye eky’abayimbi okusabiriza ku talenti yabwe.

Alemeddeko nti tewali muntu yenna agenda kubaggya ku mulamwa ku nsonga ezikwata ku bayimbi wadde balina amasasi.

Eddoboozi lya Kenzo

Ebirala ebifa mu ggwanga ssi masasi- https://www.youtube.com/watch?v=Cv5ZjkBooyA