Obutakaanya n’okusika omuguwa bweyongedde mu kibiina ki Forum for Democratic Change (FDC), omubaka wa Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, bw’agobeddwa ku bukulembeze bwa FDC mu Palamenti.
Ssemujju yabadde akulembera ababaka ba FDC mu Palamenti.
Wabula okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa nga kiteekeddwako omukono ssaabawandiisi w’ekibiina ki FDC, Nathan Nadala Mafabi, Ssemujju agobeddwa ku bukulembeze obwo.

Ssemujju asikisiddwa omubaka we Mawokota South, Yusuf Nsibambi.
Mu kiwandiiko, Mafabi agambye nti enkyukakyuka ezo, zitandikiddewo.

Bino byona okubaawo, nga Ssemujju alemeddeko, agamba nti Mafabi y’omu ku bakulembeze mu kibiina ki FDC abayingiza ssente okuva eri Pulezidenti Yoweri Museveni, okusanyawo ekibiina kyabwe.