Laba kye bayita okulya obulamu ku ‘beach’, tobanyumizza kondomu

Okulya obulamu, y’emu ku nsonga lwaki abantu bakeera kunoonya ssente, okufuna ku nsimbi zebalina okusasaanya.
Wano mu Uganda, abantu abategeera okulya ssente, balina okudigida buli lunnaku.
Ebbaala zikola okuva ku Mmande okutuusa ku Ssande ng’abantu balya bulamu.
Ate ku wikendi, abantu bagenda ku ‘Beach‘ ez’enjawulo okulya obulamu.
Embeera eri mu Uganda, tewali njawulo nnyo n’okulya ssente okuli mu ggwanga lya Brazil.
Olunnaku olwaleero, tukuleetedde engeri y’okulya obulamu ku ‘Ipanema Beach’ mu maserengeta g’ekibuga Rio de Janeiro e Brazil.
Ku Ipanema, wabaayo emizannyo egy’enjawulo omuli omupiira gw’ebigere, okubaka, Volleyball ne Footvolley.
Abantu bagenda ku Beach okuwuga wabula mu mazzi abaana balya obulamu nga tebalowooza ku nkya.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rnnQaKSG9vs