Kyaddaki Zuena Kirema mukyala w’omuyimbi wa Moses Ssali (Bebe cool) avuddemu omwasi ku nsonga z’obufumbo bwe.
Zuena ali mu myaka 39, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okulaga abawala amakulu bw’obuguminkiriza mu nsonga z’obufumbo.
Agamba nti wadde yali muwala muto ng’alabika bulungi, bwe yali yakayingira obufumbo ne Bebe Cool baali mu mbeera mbi nnyo nga tewali ssente wabula yasobola okulaga Bebe Cool nti ddala alina omukwano gwe.


Abotodde ekyama nti Bebe yamukuba embaga wali ku Crane Chambers mu Kampala nga 12, September, 2003 era kati bali myaka 20.
Agamba nti olwa laavu, embaga yamala essaawa 2 zokka nga tewali kwambala gawuni wadde okusembeza abagenyi okulya ku mmere.


Ng’omukyala omulala yenna alina laavu y’omusajja, mu myaka 20, Zuena asobodde okuzaalira Bebe abaana bataano (5).
Mu myaka 20, Bebe Cool kati y’omu ku bayimbi abali obulungi, alina amaka, asobodde okusomesa abaana, akyavuganya mu kisaawe ky’okuyimba n’ebirungi ebirala.
Wadde bamaze emyaka 20 mu bufumbo, Bebe Cool alina essuubi okuddamu okutekateeka omukolo ogwamaanyi, okwongera okwebaza n’okusiima Zuena okuba omukyala ow’enjawulo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=7ukOsY7wPWw