Abantu bagobye okusaba kwa Bobi Wine, bazudde omutuufu

Uthman Mubarak Kadir Mugisa, munnakibiina ki National Resistance Movement-NRM alangiriddwa ng’omuwanguzi ku bwa ssentebe wa LCV e Hoima.
Mugisa alangiriddwa Merab Kasande, akulira eby’okulonda mu disitulikiti y’e Hoima ku ssomero lya Dwoli Primary school mu ggombolola y’e Kitoba.
Mugisa afunye obululu 18,353 era asobodde okuwangula abantu 4.
Vincent Muhumuza Savana nga talina kibiina akutte kyakubiri (2) n’obululu 12,020 ate Moses Aguuda owa National Unity Platform-NUP akutte kyakusatu n’obululu 3,972.

Omuwanguzi Uthman Mubarak Kadir Junior Mugisa


Patrick Musinguzi owa Forum for Democratic change-FDC afunye obululu 271 era akutte kyakuna (4) ate Lenox Mugume nga talina kibiina yakwebedde ng’afunye obululu 179.
Kasande agamba nti okulonda kwatabudde bulungi ddala nga temuli ffujjo lyonna lyakoleddwa.
Oluvanyuma lw’okulangirirwa, Mugisa asiimye abatuuze b’e Hoima okumwesiga okumukwasa obuyinza ku bwa ssentebe wa LC 5.
Asuubiza okwenyigira mu kulwanyisa ekibba ttaka era awanjagidde abatuuze okukolagana okutwala Hoima mu maaso.
Ate ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama asiimye abatuuze b’e Hoima okwolese empisa mu kulonda omukulembeze waabwe.
Eyali ssentebe wa LCV Kadir Kirungi okufiira mu kabenje mu March, 17, 2023 ku luguudo lwa Hoima-Kampala ku kyalo Mataagi mu Tawuni Kanso y’e Bukomero mu disitulikiti y’e Kiboga, y’emu ku nsonga lwaki abatuuze bazzeemu okulonda.

Wadde Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yagenze e Hoima okunoonyeza Aguuda akalulu, abantu bagaanye okumulonda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=JIYYlG-6itI