Minisita w’amawulire mu ggwanga lya Congo Brazzaville Thierry Moungalla awakanyiza amawulire agali mu kutambula nti Pulezidenti w’eggwanga erya Congo Brazzaville, Denis Sassou Nguesso awambiddwa amaggye.

Okuva olunnaku olw’eggulo ku Ssande, amawulire gabadde mu kutambula nti amaggye agakuuma Pulezidenti, gasobodde okuwamba Pulezidenti Nguesso.

Pulezidenti Nguesso

Kigambibwa Pulezidenti Nguesso ali mu kibuga New York mu ggwanga erya America mu lukungaana lw’ekibiina ky’amawanga amagate.

Wabula Minisita Moungalla agamba nti amawulire agali mu kutambula gabulimba.

Minisita Moungalla asobodde okweyambisa omukutu ogwa ‘Twitter’ okusaba bannansi okusigala nga bakakamu kuba Pulezidenti akyali mu ntebe.

Pulezidenti Denis Sassou Nguesso myaka 79 nga yali musajja munnamaggye abadde Pulezidenti wa Congo Brazzaville okuva mu 1997.

Okuva 2020, Africa ebadde n’emirundi 7 ng’abakulembeze bawambibwa nga Gabon yeebadde esembyeyo mu August, 2023.

Pulezidenti

Ensi endala omuli Niger, Burkina Faso, Sudan, Guinea, Mali, zonna kati waliwo amaggye agali mu ntebe.

Olunnaku olw’eggulo ku Ssande,  Burkina Faso, Mali ne Niger, zatadde omukono ku kiwandiiko nga balina kukolera wamu ku nsonga y’ebyokwerinda, okwetangira abayinza okubalumba.

Ebigambo bya Minisita Moungalla byongedde okuwa essanyu abawagizi be mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=XrL2kp4Ng6o