Ebya Sheebah ne Cindy sibirungi, Mps bagamba bakooye ejjoogo ly’okusabbalaza abantu

Waliwo ababaka ba Palamenti abasabye Minisitule ya Tekinologye n’okulungamya eggwanga okuvaayo okulambika eggwanga ku nyambala okusinga okulinda eggwanga okusanawo.

Bano, Bagamba nti ‘battle’ y’ekivvulu ekyabadde e Kololo wakati wa Sheebah Kalungi ne Cinderella Sanyu (Cindy) wiiki ewedde ku Lwokutaano, abayimbi basukkiridde okwolesa obuseegu.

Nsaba Buturo omubaka wa Bufumbira East, agamba nti ennyambala y’abayimbi ey’obuseegu, y’emu ku nsonga lwaki abayimbi bangi bakyalemeddwa okuvaayo olwa talenti nga balowooza kweyambisa buseegu okumanyika.

Agamba, abayimbi balemeddwa okweyambisa talenti okutunda Uganda ne badda ate mu kweyambisa talenti zaabwe okusanyawo ekitiibwa ky’eggwanga.

Nsaba Buturo ku myaka 72, agamba nti abayimbi, balina okweyambisa talenti yaabwe, okulaga ebirungi ebiri mu ggwanga.

Nsaba Buturo agamba nti omuyimbi yenna okulinya ku siteegi mu ngeri ewebuula ekitiibwa kye, nga balowooza nti balina eddembe lyabwe, balina okukirwanyisa.

Ate Peggy Wako akiikirira abakadde mu Palamenti ku kaadi ya NRM, agamba nti abayimbi balina okutwala omulimu gwabwe ng’erimu ku kkubo abantu mwe bayinza okuyitira okufuna ensimbi nga kiswaza abayimbi okulowooza nti obuseegu kiyinza okuyimirizaawo omulimu gwabwe.

Agamba nti ye ssaawa okulemesa abantu abamu okuyimba okusinga okulinnya ku siteegi ate ne badda mu kusasaanya obuseegu mu nnyambala, enjogera n’ebikolwa byabwe ku siteegi.

Ate Charles One omubaka w’e Gulu East atabukidde abayimbi okweyambisa ennyo ebiragalalagala ekibalemesa okuba abasomesa abalungi eri eggwanga.

Abasabye okulabira ku nsi omuli Singapore, South Africa ne Democratic Republic of Congo (DRC) abayimbi gye bakozesa ebitone okusomesa eggwanga.

Omubaka Charles One avumiridde aky’abayimbi okulinya ku siteegi nga kumpi bali bukunya empale zirabika, amabeere n’ebitundu by’omubiri eby’enjawulo, ekintu ekikyamu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YFmbjD0ema4