Poliisi mu Kampala ekutte omukyala Nakunda Shakira, agambibwa nti yakulemberamu okutta omusajja Direkita mu loogi e Nansana.
Omusajja eyattiddwa, Godwin Kansiime myaka 47 abadde Direkita wa Victoria Sec School Nansana era omulambo gwe gwazuulibwa nga gusuuliddwa e Masuulita mu Wakiso.
Mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti Kansiime yayingira mu loogi ya Nansana Inn Rest House nga 2, September, 2023 n’omukyala atamanyikiddwa.

Nansana Inn Rest House, Nansana

Enkera nga 3, September, abakozi kwe kuzuula nti omusajja baamutidde mu loogi nga n’omukyala yagenze dda.
Okwagala okukuuma erinnya lye kifo, abakozi ku loogi bekobaana ne bakwata omulambo ne baguzinga masuuka ne bagutwala ne bagusuula e Masuliita Kilo mita 17 okuva ku loogi

Emmotoka eyatambuza omulambo okuva ku Loogi


Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi okufuna amawulire nti omusajja yalabwako ku loogi, webatandikidde okunoonyereza.

Omukwate Nakunda Shakira


Abakozi ku loogi, bakkiriza nti kituufu batwala omulambo ne gusuulibwa e Masuulita olw’okutaasa erinnya ly’ekifo era waliwo abakwatiddwa.
Mu kwongera okunoonyereza, n’omukyala Nakunda Shakira agambibwa okutta omusajja mu loogi naye akwatiddwa.
Nakunda agamba nti kituufu alina ebintu bye yateeka mu by’okunywa by’omusajja, okusobola okubba amassimu ge ne ssente zonna wamu n’okugyayo ssente ku Mobile Money wabula yali tayagala kumutta.
Agamba nti oluvanyuma lw’okusinda omukwano, omusajja yabadde akooye ennyo kuba yabadde amazze okunywa ebiragalalagala mu by’okunywa, ekyavuddeko okufa.

Omukwate Nakunda ng’ali ku Poliisi ku CPS, Kampala


Nakunda agamba nti yabadde ayagala kubba bintu bya musajja nga y’emu ku nsonga lwaki yamuwadde ebiragalalagala ekyembi yafudde.
Owoyesigyire ayogeddeko naffe era agamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YFmbjD0ema4