Poliisi y’e Rubirizi ekutte taata ku misango gy’okudda ku mwana we myaka 4 namusobyako.
Taata akwatiddwa, mutuuze ku kyalo Mugogo II mu ggoombolola y’e Ryeru mu disitulikiti y’e Rubirizi.
Okunoonyereza kulaga nti taata Ronia Kyarimpa yasobya ku mwana we ku Lwokubiri nga 19, September, 2023.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Marcial Tumusiime, Poliisi yafunye amawulire nti taata asobezza ku mwana we era omuyigo ne gutandikirawo okutuusa lwakwatiddwa.
Pamela Musimenta, akulira ebyobulamu ku kyalo, agamba nti omwana yakebeddwa era yabadde asobezeddwako enfunda eziwera.
Omwana yatwaliddwa ku ddwaaliro lya Rugazi Health Center IV okwekebejjebwa.
Abatuuze bagamba nti Kyarimpa yafuna obutakaanya ne mukyala we ne bawukana kati emyaka 3.
Ku ntandikwa y’omwaka guno 2023, omukyala yakomyawo abaana okubeera ne kitaabwe kyokka ekyembi, abaddeb akozesa omwana we.
Poliisi egamba nti omukwate essaawa yonna bamutwala mu kkooti, abitebye.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=VjZ3-QtNxhk