Poliisi mu kibuga Mbale ekutte omusajja myaka 29 ku misango gy’okwagala okutta mukyala we.
Masaba Rajab nga mutuuze ku kyalo Namasaba IV lower cell mu ggoombolola y’e Namabasa Ward mu kibuga Mbale, akutte asidi namuyiira mukyala we Nabwire Aisha myaka 19.
Omusajja Masaba aludde ng’ateebereza mukyala we Nabwire okuba n’abasajja abalala era obutakaanya, kyavaako omukyala okwawula ebiseenge, nga buli omu asula yekka.

Omukyala ng’ali mu ddwaaliro


Wadde balina omwana omu, omusajja mu kiro ku Ssande, yasooberedde mukyala we Nabwire nga yeebase, namuyiira asidi eyamukutte ku lubuto, omugongo n’obulago.

Taitika Rogers, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon, agamba nti omukyala Nabwire asindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mbale ng’ali mu mbeera mbi okufuna obujanjabi nga n’omusajja Masaba akwatiddwa.
Taitika awanjagidde abatuuze okweyambisa abakulembeze ne Poliisi singa bafuna obuzibu bwonna, okusinga okutwalira amateeka mu ngalo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=F7ondFqDUNg