Omukazi Shamim Batariro asindikiddwa mu kkomera okumala omwaka gumu n’emyezi 6 lwa bubbi.

Batariro yeenyigira mu kubba emmotoka y’Obusumba bwe Kigezi mu kuziika omugagga Apollo Nyegamahe eyali amanyikiddwa nga Aponye mu disitulikiti y’e Rukiga.

Omukazi Batariro nga mutuuze w’e Ruhinja mu disitulikiti y’e Wakiso, mu kkooti yakkiriza okubba emmotoka ekika kya Suzuki namba UAT 478N nga 12, July, 2023.

Emmotoka yali ekozeseddwa okutambuza bannadiini okuva mu busumba bwe Kikungiri nga bakulembeddwamu Archdeacon Venerable Canon Amos Tweteise okulemberamu okusabira omwoyo gw’omugenzi Aponye ku kyalo Kitaburaza mu Tawuni Kanso y’e Muhanga.

Wadde yali afunye omukisa okudduka okuva e Rukiga, Poliisi yamukwatira mu Tawuni Kanso y’e Nyeihanga ku ssaawa 4 ez’ekiro era amangu ddala yatwalibwa ku Poliisi y’e Rwampara mu disitulikiti y’e Rwampara gye yagibwa okutwalibwa e Rukiga ku misango gy’obubbi.

Okukwatibwa, yasangibwa n’ebintu eby’enjawulo omuli ebisumuluzo eby’enjawulo, ssente emitwalo 50 n’ebintu ebirala.

Mu kkooti y’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Kabale Derrick Byamugisha, Batariro asibiddwa ebbanga lya mwaka gumu n’emyezi 6 mu kkomera lya Gavumenti e Ndorwa.

Omulamuzi era alagidde Poliisi okuddiza Batariro ssente ze shs 480,000 okumuyambako ng’ali mu kkomera.

Rev Canon Milton Nkurunungi, omuwandiisi w’obusumba bwe Kigezi asanyukidde eky’okusiba Batariro era alabudde abantu okwesamba okwenyigira mu kuzza ebikolobero – https://www.youtube.com/watch?v=zQdP46mLECo