Poliisi y’e Kamuli ekutte omusajja taata Bagoole Julius myaka 45 ku misango gy’okusobya ku baana be basatu (3).
Bagoole mutuuze ku kyalo Estates mu Monisipaali y’e Kamuli.
Abaana (amannya gasirikiddwa) kuliko myaka 14, 16 ne 17.
Okunoonyereza kulaga nti Bagoole yatandiika okusobya ku baana mu February 2022 okutuusa mu August, 2023, omu ku baana eyali akooye embeera, bwe yategeeza ku mukwano gwe, oluvanyuma ne bategeeza ku maama, mukyala wa Bagoole.
Maama ategerekeseeko erya Nabirye yasobodde okutegeeza omu ku batabani, eyasobodde okutwala omusango ku kitebe kya Poliisi e Kamuli ku ntandikwa ya wiiki eno.
Ku Poliisi, abaana bagamba nti kitaabwe yabategeeza nti balina emizimu ng’alina okubataasa nga bayita mu kwegata.
Abaana bagamba nti kitaabwe abadde abatwala mu bifo eby’enjawulo okubakozesa wadde nga bakooye embeera.
ASP Kasadha Micheal, omwogezi wa Poliisi mu Busoga North, agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo era essaawa yonna bagenda kutwala taata Bagoole mu mbuga z’amateeka.
Kasadha awanjagidde abatuuze okuyambagana okulwanyisa abantu nga Bagoole, abenyigidde mu kuzza emisango.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IuQRcTL5B-o