Poliisi y’e Kakooge mu disitulikiti y’e Nakasongola ekutte maama ku misango gy’okutulugunya abaana be.

Maama Namuwonge Justine myaka 27 nga mutuuze ku kyalo Kyabutaika mu ggoombolola y’e Kakooge e Nakasongola yakwatiddwa.

Namuwonge  ali ku misango gy’okudda ku baana be beyeezaalira Nagenda Fatuma myaka 6 ne Nasuuna Hajara myaka 4 nga bonna bayizi ku Kamukamu Nursery School Kakooge nabookya.

Maama Namuwonge ku Mmande ya sabiiti eno nga 23, October, 2023 ku ssaawa 9 ez’akawungeezi, yakutte abaana n’abookya engalo ne sigiri ng’abalumiriza okubba enva z’ebijanjalo.

Abaana yabadde abakuumidde mu nnyumba nga tewali kubaddusa mu ddwaaliro, nga batandise okuvunda engalo okutuusa omu ku batuuze Kwagala Resty myaka 25, nga mukyala musomesa lwe yatemeza ku Poliisi.

Twiineamazima Sam, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, agamba nti omukyala akwatiddwa ku misango gy’okutulugunya abaana era akuumibwa ku Poliisi y’e Kakooge.

Twiineamazima agamba nti maama Namuwonge bamutwala mu kkooti amangu ddala nga Poliisi efundikidde okunoonyereza.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=F7ondFqDUNg