Omusirikale D/IP Balikowa ali ku misango gy’okusobya ku mukyala, agobeddwa mu kitongole ekya Poliisi, avunaanibwe ng’omuntu wa buligyo.

Afande Balikowa, yabadde akulira okunoonyereza ku misango ku Poliisi y’e Namusita mu disitulikiti y’e Buyende.

Omukyala myaka 30 nga mutuuze ku kyalo Kalambo mu ggoombolola y’e Ndolwe, yaddukidde ku Poliisi okuyambibwa olw’obutakaanya wakati we ne bba Odere Ronald.

Yagenda ku Poliisi nga 12, October, 2023 ku ssaawa 5 ez’okumakya.

Abasirikale 3 baasindikibwa awaka okukwata omusajja Odere kyokka yasangibwa atambuddemu.

Omukyala yatya okudda awaka nti bba ayinza okumutusaako obulabe mu kiro.

Ku ssaawa 12:30 ez’akawungeezi, omusirikale Balikowa yasuubiza omukyala nti amufunidde ekifo wayinza okusula kyokka yamutwala mu Balakisi ya Nakabira.

Yamugulira emmere n’ebyokunywa oluvanyuma namutwala mu nnyumba ye era ekiro kiramba, yasula amusobyako.

Enkera, nga 23, October, 2023, Balikowa yazaayo omukyala ku Poliisi era yasobola okuyambako omusajja Odere ne bamukwata era ne bakaanya ne bba.

Kyokka oluvanyuma omukyala yaddayo ku Poliisi okuloopa D/IP Balikowa okumukozesa ekiro kiramba.

Mu kiseera kino, Poliisi egamba nti omusirikale waabwe kati muntu wa buligyo era essaawa yonna bamutwala mu kkooti abitebye.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti okunoonyereza kugenda mu maaso era abantu nga Balikowa tebalina kusigala mu Poliisi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DCBO5RuvB48