Ekitongole ekinoonyereza ku misango mu kitongole ekya Poliisi, kisobodde okusindika fayiro mu offiisi ya ssaabawaabi ba Gavumenti, ku abantu abaakwatibwa ku by’okutta Joan Namazzi Kagezi.

Joan Namazzi Kagezi, yattibwa nga 30, March, 2015 nga mu kiseera ekyo, yeyali amyuka ssaabawaabi ba Gavumenti era yali mu musango gw’abantu 13 abaali baakwatibwa ku by’okutega bbomu mu Kampala mu July, 2010 ku fayino za World Cup omwafiira abantu 79.

Mu kkooti e Nakawa mu maaso g’omulamuzi Elias Kakooza, amyuka Ssaabawaabi wa Gavumenti Thomas Jatiko, ategezezza nti fayiro, yasindikiddwa okugyekeneenya.

Mu kkooti, abasibe tebalabiseeko wadde ku nkola ya Zuumu nga bayita ku mutimbagano, ekyongedde okutabula oludda oluwaabi wabula omu ku basirikale okuva e Luzira agamba nti ekkomera teryafunye kutegeezebwa nti olunnaku olwaleero, balina okuleetebwa mu kkooti.

Omulamuzi Kakooza, ayongezaayo omusango okutuusa nga 11, Desemba, 2023, abasibe okuleetebwa mu kkooti, n’okwekeneenya okunoonyereza wekutuuse.

Abasibe okuli Daniel Kisekka Kiwanuka – musajja mulimi ate mwoki w’amanda ku kyalo Nsanvu mu Tawuni Kanso y’e Kitimbwa e Kayunga.

John Kibuuka amanyikiddwa nga Musa nga musibe mu kkomera e Kigo.

Nasur Abdallah Mugongole ne John Masajjage amanyikiddwa nga Mubiru Brian oba Badru nga bonna bali mu kkomera e Kitalya e Wakiso.

Baasindikibwa ku limanda nga 6, November, 2023, ku misango gy’obutemu n’obutujju nga baali banoonyezebwa emyaka egisukka 8 bukya Kagezi attibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=GbKuy-LDCjk