Kkooti enkulu mu Kampala erangiridde nga 18 ne 19, December, 2023 okuwuliriza emisango egivunaanibwa Charles Olimu amanyikiddwa nga Sipapa ssaako ne mukyala we Shamila Rukia Nakiyemba egy’okubbisa eryanyi.
Sipapa n’omukyala Nakiyemba, bali mu maaso g’omulamuzi Michael Elubu ate oludda oluwaabi lukulembeddwamu Edward Muhumuza.
Mu kkooti, Muhumuza agamba nti basobodde okuwa bannamateeka ba Sipapa, Susan Wakabala ne Henry Kunya, obujjulizi bwonna obugenda okwesigamwako mu kuwulira omusango.
Omulamuzi Elubu asobodde okulonda abantu okuli Joseph Wasidi ne Juliet Kasiidwa okuwabula kkooti ku misango egyo.
Sipapa n’omukyala kati bakulungudde ku limanda mu kkomera e Luzira ebbanga erigenda mwaka omulamba nga balina okudda mu kkooti nga 18, December, 2023, okutandiika okwewozaako.
Okunoonyereza kulaga nti nga 29, August, 2022, e Bunga Kawuku mu Divizoni y’e Makindye, Kampala, Sipapa, Nakiyemba ne banaabwe abakyaliira ku nsiko, beenyigira mu kubba omusajja munnansi wa South Sudan Jacob Arok Mul ebintu ssaako ne ssente.
Kigambibwa, batwala ssente US$ 429,000 (Biriyoni za ssente 1.6), amassimu, TV nga zibalibwamu US$4 ,000.
Okunoonyereza era kulaga nti Charles Olimu, Nakiyemba n’abalala, era bali ku misango egy’enjawulo egy’obubbi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jRBv3gdC-7g