Ekyuma kya Sukaali kiridde omukozi

Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero etandiise okunoonyereza ku nfa y’omukozi mu fakitole ya sukaali eya Victoria.

Isaac Rwothomiyo myaka 25 abadde mutuuze ku kyalo Ndibulungi mu ggoombolola y’e Butuntumula mu disitulikiti y’e Luweero.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Sam Twineamazima, okunoonyereza kulaga nti Rwothomiyo ekyuma kyamulidde era yafiiriddewo olunnaku olw’eggulo ku Mmande ku ssaawa 3 ez’okumakya.

Poliisi egamba nti yafunye essimu okuva eri akulira ensonga z’abakozi mu Fakitole ya Victoria era amangu ddala yatuuse era omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Twineamazima agamba nti okunoonyereza kulaga nti waabaddewo obulagajjavu mu nzirukanya y’ebyuma, ekyavuddeko Rwothomiyo okufa.

Poliisi egamba nti abakozi bagiddwako sitetimenti era okunoonyereza kuli mu ggiya nnene era bayimiriza emirimu mu Fakitole.

Ate ekitongole ekinoonyereza ku misango mu kitongole ekya Poliisi, kisobodde okusindika fayiro mu offiisi ya ssaabawaabi ba Gavumenti, ku abantu abaakwatibwa ku by’okutta Joan Namazzi Kagezi.

Joan Namazzi Kagezi, yattibwa nga 30, March, 2015 nga mu kiseera ekyo, yeyali amyuka ssaabawaabi ba Gavumenti era yali mu musango gw’abantu 13 abaali baakwatibwa ku by’okutega bbomu mu Kampala mu July, 2010 ku fayino za World Cup omwafiira abantu 79.

Mu kkooti e Nakawa mu maaso g’omulamuzi Elias Kakooza, amyuka Ssaabawaabi wa Gavumenti Thomas Jatiko, ategezezza nti fayiro, yasindikiddwa okugyekeneenya.

Mu kkooti, abasibe tebalabiseeko wadde ku nkola ya Zuumu nga bayita ku mutimbagano, ekyongedde okutabula oludda oluwaabi wabula omu ku basirikale okuva e Luzira agamba nti ekkomera teryafunye kutegeezebwa nti olunnaku olwaleero, balina okuleetebwa mu kkooti.

Omulamuzi Kakooza, ayongezaayo omusango okutuusa nga 11, Desemba, 2023, abasibe okuleetebwa mu kkooti, n’okwekeneenya okunoonyereza wekutuuse.

Abasibe okuli Daniel Kisekka Kiwanuka – musajja mulimi ate mwoki w’amanda ku kyalo Nsanvu mu Tawuni Kanso y’e Kitimbwa e Kayunga.

John Kibuuka amanyikiddwa nga Musa nga musibe mu kkomera e Kigo.

Nasur Abdallah Mugongole ne John Masajjage amanyikiddwa nga Mubiru Brian oba Badru nga bonna bali mu kkomera e Kitalya e Wakiso.

Baasindikibwa ku limanda nga 6, November, 2023, nga baali banoonyezebwa emyaka egisukka 8 bukya Kagezi attibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=GbKuy-LDCjk