Ebirungo bya Zari bikomezaawo Diamond, waya ya Shakib efunye omusujja

Omukyala Zari Hassan ayongedde okulaga nti ddala mukyala wa njawulo nnyo ku bakyala abalala.
Mu Africa, abakyala bangi singa bafuna obutakaanya n’abasajja, bangi baddukira mu kkooti okusaba eby’obugagga.
Waliwo abadda mu kutambuza ebigambo, okusiiga munne enziro wabula Zari ayongedde okulaga nti ye wanjawulo.

Zari yafuna obutakaanya ne bba Diamond Platnumz nga balina abaana 2.
Ng’omuntu omulala yenna, yasalawo okwesonyiwa omusajja.
Mu kiseera kino, Zari alina omusajja omulala Shakib Cham era mu October, 2023, Zari yakuba Shakib empeta okulaga nti ddala afunye omusajja gw’alina okuwangala naye okutuusa okufa.
Yasuubiza okuzaalira Shakib omwana wadde ebbanga litambudde nga tewali sigino yonna eraga nti ayinza okumuzaalira omwana yenna.
Zari okulaga nti mukyala wanjawulo, waliwo vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu ng’ali ne bba Shakib wamu ne Diamond, okulaga nti talina buzibu bwonna kusembeza Diamond kuba yamuzaalamu abaana.
Ebirungo bya Zari bikomezaawo Diamond wabula waya ya Shakib efunye omusujja kuba alina okutya nti mukyala we Zari ayinza okuddamu okuwa Diamond ebyalo kuba musajja alina ssente.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=faaktnsgW2Y