Enkuba ekikoze, abatuuze bakazuula emirambo 60 olw’amataba
Okunoonya emirambo kukyagenda mu maaso mu ggwanga lya Tanzania nga kivudde ku mataba okutwala abantu.
Abatuuze n’ebitongole ebikuuma ddembe byakazuula emirambo 63.

Gavumenti esobodde okusindika abantu abasukka mu 400 mu disitulikiti y’e Hanang okuyambako mu kutaasa abantu n’okunoonya emirambo.
Olw’amataba, amayumba mangi gali ku ttaka, amassomero, enguudo zonna kati zijjudde ebinnya.

Emmere yatwaliddwa amazzi, ebisolo byafudde era mu kiseera kino, abantu bali mu mbeera mbi.
Wadde Pulezidenti Samia Suluhu Hassan abadde mu kibuga Dubai mu lukung’aana lw’embeera y’obudde, alagidde abakulu mu Gavumenti abali awaka, okuwa aba famire ssente z’okuziika abantu baabwe mu kitiibwa.
Dr Godwin Mollel, amyuka Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga lya Tanzania agamba nti Gavumenti esobodde okusindika abasawo, okuyambako okuwa abantu obujanjabi.
Kigambibwa abantu abali mu 1,500 bebakoseddwa nga balina okuyambibwa.

Waliwo taata Fanuel John nga mutuuze ku kyalo Gendabi mu kiseera kino ali mu kunoonya mukyala we n’abaana 4 nga bonna batwaliddwa amazzi.
Ensi endala eziri okutawanyizibwa amataba mwe muli Somalia, Kenya, Burundi n’endala.
Enkuba ekikoze, abatuuze bakazuula emirambo 60 olw’amataba
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=LWZ1leQ_3jc