Maama w’omubaka we Kawempe North, Muhammad Ssegirinya, asobeddwa olw’embeera ya mutabani we.
Maama Justine Nakajumba asula akaaba olw’obulwadde okweyongera okunafuya Ssegirinya.
Ssegirinya agamba nti alina endwadde ez’enjawulo omuli Kkansa w’olususu, ekibuumba kirwadde nga kyonna kuliko amabwa ate alina obuzibu bw’okuwunga.
Nga tusemberedde okumalako omwezi oguwedde ogwa November, 2023, Ssegirinya yasiibuddwa okuva mu ddwaaliro e Nsambya okudda mu makaage e Kawempe.
Wabula ku Lwokusatu ekiro nga 29, November, 2023, Ssegirinya yazziddwa mu ddwaaliro e Nsambya ng’ali mu mbeera mbi.
Yatuuse mu ddwaaliro ng’ali ne nnyina Nakajumba, mikwano gye n’abantu abalala nga bamukwatiridde.
Agava mu ddwaaliro galaga nti Ssegirinya ayongedde okunafuwa ng’azimbye olubuto era abasawo bakola kyonna ekisoboka okumuwa obujanjabi.
Maama Nakajumba agamba nti asula akaaba olwa mutabani we kuba obulwadde bumwesibyeko.
Ssegirinya wadde ali mu ddwaaliro, ali ku misango egy’obutujju, obutemu, okugezaako okutta abantu n’emisango.
Ssegirinya ali ku misango egyo, ne Allan Ssewanyana omubaka we Makindye West ssaako n’abantu abalala okuli Jackson Kanyike, John Mugerwa, Bull Wamala ne Mike Sserwadda egyekuusa ku kitta bantu ekyali e Masaka mu 2021, omwafiira abasukka 20.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=A8J0pNlsmrU