Poliisi mu kibuga Arua ekutte maama, eyakutte muwala we namusuula mu kabuyonjo nga mulamu.

Omuwala akwatiddwa myaka 16 nga mutuuze ku kyalo Ewanyapa cell mu ggoombolola y’e Ayivu West mu kibuga Arua.

Kigambibwa ekiro ku Lwokusatu, yakutte muwala we wiiki 2 namusuula mu kabuyonjo.

Abatuuze okutegeera ssaako ne Poliisi, bagenze okusima kabuyonjo, ng’omwana yamaze dda okufa.

Stephen Buga, ssentebe w’ekyalo, agamba nti omulambo mu kabuyonjo gwalabiddwa omu ku baneyiba eyabadde agenze mu kabuyonjo okweyamba.

Kigambibwa, omuwala yasse omwana olw’omusajja, taata w’omwana okudduka ng’ate yetaaga obuyambi.

Omuwala akuumibwa ku kitebe kya Poliisi Arua ku misango gy’okutta omwana we.

Josephine Angucia

Josephine Angucia, omwogezi wa Poliisi mu West Nile awanjagidde abazadde okuvaayo okwongera okusomesa abaana baabwe okwewala okwenyigira mu bikolwa by’obufumbo ku myaka emito.

Angucia agamba nti omuwala aguddwako emisango gy’okutta omuntu era essaawa yonna bamutwala mu kkooti ssaako n’okunoonya omusajja eyamusobyako ku myaka emito.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6X9oe1O2520