Omusirikale Police Constable akwatiddwa ku by’okusobya ku mwana omuto myaka 13 ku kitebe kya Poliisi e Mbale mu kibuga Mbale.
PC Dancan Bainomugisha myaka 25 kigambibwa yatutte omwana mu kayumba mwasula ku Lwokutaano nga 19, January, 2024 ku ssaawa nga 1 ey’akawungeezi, era yamusobezaako okumala ebbanga.
Omwana ali mu P4 era mutuuze ku kyalo Police Cell mu ggoombolola y’e Industrial City mu kibuga Mbale.
Rodgers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu Elgon agamba nti kituufu omusirikale waabwe namba 72888 akwatiddwa.
PC Bainomugisha akolera ku kitebe kya Poliisi e Mbale era Poliisi egamba nti esobodde okufuna obujjulizi.
Okunoonyereza kulaga nti omusirikale oluvanyuma lw’okusobya ku mwana, yasobodde okweyambisa bodaboda okumuzaayo mu bazadde be mu disitulikiti y’e Butaleja.
Omwana abadde abeera ne Kojja Mahad Mweru mita 150 okuva ku kitebe kya Poliisi e Mbale.
Taitika agamba nti Kojja Mahad agiddwako sitetimenti, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.
Omusirikale aguddwako emisango gy’okusobya ku mwana omuto era essaawa yonna bamutwala mu kkooti abitebye.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=NOXotVNwB_U