Poliisi mu Kampala eri mu kunoonya omusomesa ku Yunivaasite e Kyambogo ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, ate nga akimanyi bulungi nti mulwadde wa siriimu.

Omusomesa Dr. Eron Lawrence myaka 56 yanoonyezebwa ku by’okusobya ku mwana myaka 16, ng’aliko obulemu.

Omwana eyasobezebwako, emisana okulaba alina kwambala galubiindi ate ekiro, talabirako ddala.

Ku Yunivasite e Kyambogo, Dr. Lawrence yakulira eby’okusomesa abaana abaliko obulemu era yabadde akulira Pulojjekiti y’okusomesa abayizi ‘Byonna bye tulaba kisoboka’.

Okunoonyereza, kulaga nti mu October, 2023, yakulemberamu abayizi abaliko obulemu, nga bagenda mu lukungaana mu ggwanga lya Kenya mu kibuga Nairobi.

Mu kudda mu Uganda nga 12, October, 2023, yasalawo okweyambisa emmotoka ye ekika kya WISH – UBA 349Z, okutwalako abayizi, okusobola okudda awaka.

Dr. Lawrence, yasookera ku bayizi 2 aba Gulu Yunivaasite, okubatwala mu ppaaka e Namayiba, mu Kampala okuddayo e Gulu, oluvanyuma yatwala omwana ow’okusatu (3) ku Yunivasite e Kyambogo gye yali asula, ng’alina okutwala omwana ow’okuna (4) ku ssomero lya Mukono Secondary.

Wabula ku ssaawa 4:20 ez’ekiro, wakati wa Namugongo – Nsawo mu Monicipaali y’e Kira, omwana yasaba okunywa amazzi era Dr. Lawrence, yagutwala ng’omukisa.

Kigambibwa, yamuwa amazzi omwali muteekeddwa ebintu, era omwana agenda okudda engulu era yenna alumwa mu bitundu by’ekyama era nga yenna ajjudde amazzi g’ekisajja.

Omwana yategeeza ku musomesa we omukyala ku ssomero era amangu ddala ng’atuuse ku ssomero era Dr. Lawrence nakwatibwa, wabula Poliisi yali yamuyimbula okutuusa nga bafundikidde okunoonyereza, olw’okuba mulwadde nga yetaaga eddagala.

Nga 13, December, 2023, alipoota yalaze nti Dr. Lawrence alina omusango kyokka okuva olwo, yadduse aliira ku nsiko.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, wasinzidde n’asaba abantu bonna n’abayizi ku Yunivasite e Kyambogo, okuyambako mu kunoonya Dr. Lawrence akwatibwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Lv0ItvcrxVo