Kyaddaki omutabani abotodde ebyama ekituufu ekyasse nnyina Cecilia Ogwal mu maziga

Sipiika wa Palamenti, Nnalongo Anita Annet Among Magogo awanjagidde abakulembeze b’eddiini mu ggwanga, okusabira Palamenti n’okussa abakulembeze mu ssaala zaabwe naye engeri gye bafa, eyongedde okumutiisa.

Anita Among mu kusaba

Sipiika Among bw’abadde ayogerako eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Cecilia Barbara Atim Ogwal, abadde omubaka omukyala ow’e Dokolo, mu kusaba okubadde ku Kkanisa ya All Saints Cathedral mu Kampala, agamba nti mu bbanga lya myaka 2 n’ekitundu, Palamenti y’e 11, kati bakafiira abakulembeze 4.

Abaakafa kuliko eyali Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanya, eyali omubaka wa Serere Okabe Patrick eyafiira mu kabenje ne Charles Okello Engola eyali Omubaka wa Oyam North eyakubwa omukuumi we kyokka n’omukuumi neyatta.

Omugenzi Anita Among

Mu kusaba, Sipiika Among asabye okubasindikira essaala, ensonga zaabwe okuzikwasa Omutonzi, naye bafa bagwawo.

Okusabira Cecilia Ogwal kwakulembeddwamu Omulabirizi wa North Kigezi  Rev Onesimus Asiimwe era akutidde abantu okunywerera ku mukama mu mbeera yonna.

Ssemwandu Lamek Smart Ogwal, agamba nti kabiite we, abadde mukyala alina omukwano nga wadde abadde Mubaka wa Palamenti, abadde amuwa ekitiibwa n’okufaayo ku baana bonna.

Omugenzi abadde alina abaana 7 n’abazukkulu.

Moses Micheal Otyek

Omu ku baana Moses Micheal Otyek agamba nti nnyina yafudde Kkansa wa Kalulwe nga yazuuliddwa kikeerezi ate yabadde talina musaayi.

Agamba nti n’okutuusa okufa, abadde mukyala musanyufu nnyo era yafudde yeebase mu ddwaaliro.

Eddoboozi ly’omutabani Otyek

Yafiiridde mu ggwanga lya India wiiki ewedde ku Lwokuna era agenda kuziikibwa ku Lwomukaaga nga 27, January, 2024 e Dokolo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Lv0ItvcrxVo