Poliisi y’e Kira mu Kampala etandiise okunoonyereza ku ttemu, eryalese abaagalana nga bonna z’embuyaga ezikunta.

Poliisi egamba nti yafunye essimu okuva eri Waiswa Latif, akulira ebyokwerinda ku kyalo Kireku Railway Zone nti waliwo abaagalana abafiiridde mu nnyumba yaabwe ku kyalo kye (Kireku Railway Zone), e  Bweyogerere mu Monisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abatuuze okumenya oluggi, ng’omuwala Acen Jesca myaka 29 ne muganzi we Ogwal Kenneth myaka 28 bonna mirambo.

Abatuuze ne Poliisi y’e Bweyogerere okwekebejja emirambo, ng’omuwala Acen alina ebiwundu eby’enjawulo ku bulago ate ng’omusajja Ogwal naye alina ebiwundu ku mutwe n’obulago.

Okwekebejja ennyumba, kwe kuzuula akambe akagambibwa okweyambisibwa mu ttemu.

ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi esobodde okutwala emirambo mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa okuzuula ekituufu.

Okunoonyereza kulaga nti Acen ne muganzi we Ogwal baludde nga balina obutakaanya era kiteeberezebwa nti omusajja yasse omuwala oluvanyuma naye neyetta.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Lv0ItvcrxVo