Mukyala w’omugenzi Henry Katanga, Molly Katanga myaka 55, kyaddaki asimbiddwa mu kkooti ku misango gy’okutta bba nga 2, November, 2023 mu maka gaabwe ku Mbuya Chwa two Road, Nakawa mu Kampala.

Katanga abadde wali mu kkooti  e Nakawa mu maaso g’omulamuzi Erias Kakooza era aguddwako emisango gy’obutemu.

Aleeteddwa mu kkooti wakati mu bukuumi okuva eri Poliisi erwanyisa obutujju nga bambalidde emmundu.

Ayingiziddwa ku kagaali k’abalema ng’omutwe gulaga anti ali mu bulumi kuba kigambibwa yalongoosebwa.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Jonathan Muwaganya, lutegezeza omulamuzi nti okunoonyereza kwagwa era bwatyo asindikiddwa mu kkooti enkulu.

Oluvanyuma lw’okusindikibwa ku limanda mu kkomera e Luzira, munnamateeka we Peter Kabatsi asabye kkooti okulagira ekitongole ky’amakkomera, bakkirize abasawo abaludde nga bajanjaba omukyala Molly, okusigala nga bagenda mu kkomera okumujanjaba.

Ate munnamateeka w’omukyala omulala MacDusman Kabega asabye kkooti okulagira abasirikale okuva mu maka g’omugenzi Katanga kuba bukya Katanga attibwa, balemedde mu maka wadde okunoonyereza kwawedde.

Muwaganya asuubiza okwekeneenya ensonga ezo kyokka agamba nti ekisumuluzo ky’ekisenge awaali ettemu, kikyali mikono gy’ekitongole ki ‘Forensics‘ era agamba nti amaggye gakusigala nga gakuuma amaka.

Wabula abasibe abasooka okuli bawala b’omugenzi abali ku misango gy’okutaataganya obujjulizi, omuli abaana Patricia Kakwanza ne Martha Nkwanzi, omusawo Charles Otai n’eyali omukozi w’awaka Amanyire George, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala  Isaac Muwata, ategese nga 29, Janwali, 2024, okuwulira okusaba kwabwe okweyimirirwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IxCsFC3V_70