Omuyimbi Rema Namakula ayongedde okulaga nti ategeera kye bayita omukwano.
Mu nsi yonna, omukyala okulaga nti ddala naye omusajja ow’enjawulo ku balala, kimuwa essanyu.
Rema naye asobodde okulaga nti ddala talina kuvuganya kwonna ku waya ya bba Hamzah Ssebunya era asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book ne Instagram, okwongera okulaga nti ddala ategeera omukwano ate abalabika obulungi.
Ng’omukyala omulala yenna, Rema asobodde okwekubya ebifaananyi ng’ali ne bba Hamza, okulaga nti akyalimu endasi.
Rema era asobodde okwagaliza bba amazaalibwa amalungi mu bigambo ebijjudde omukwano, “To the man that fills my heart with love ❤️. Best Daddy and Hubby there ever was 😍 My papi you are a good man and everyone that has met you can testify that you are a nice human being 🙌 awwwww my heart is truly at home….How did I get so lucky….stay this way papi🤗 A constant anchor of trust, comfort and support. Turning each day into an adventure ✨️ May this year bring more exciting possibilities . LOVE YOU BABY ♥️“
Rema yaliko mu laavu n’omuyimbi Eddy Kenzo yafunamu obutakaanya era oluvanyuma yasalawo okunoonya omusajja omulala Dr. Hamza ategeera omukwano.
Mu 2019 Rema yatwala Dr. Hamza mu bazadde era mu kiseera kino balina omwana omu ng’ali myaka 2.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IxCsFC3V_70