Barbie Kyagulanyi, mukyala w’omukulembeze w’ekibiina ekya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, alaze nti ddala Bobi ategeera ekintu mukwano.

Barbie asobodde okweyambisa emikutu migatta abantu egy’enjawulo omuli Facebook, Instagram ne X okulaga bba omukwano ku lunnaku lw’amazaalibwa.

Laba Laavu gwe

Ng’omukyala omulala yenna, Barbie alabudde Bobi nti alina okumwesibako Mpaka kuwulila bubi.

Barbie era agamba nti alina omukisa okuba nga yafuna omusajja ategeera omukwano nga Bobi, era alaze nti musanyufu nnyo olw’okuwa Bobi obulamu bwe bwonna mu nsonga z’omukwano.

Obubaka bwe, bugamba nti “Birthday boy nze amulina! Leero nina kumwesibako mpaka kuwulila bubi.. Literally! Dear Taata. I love you. I wish you a long, healthy and happy life ahead. I am blessed to have met you, I am privileged to know you and to share this life with you. Happy birthday Bestie 🥰

Bobi wine yawezeza emyaka 42, era nga muzadde wa baana 4 nga bona bazaalibwa mukyala we Barbie Kyagulanyi.

Bobi Wine yazaalibwa nga 12, February, 1982 era olunnaku olw’eggulo ku Mmande, yabadde ajjaguza okuweza emyaka 42.

Musajja muyimbi, munnabyabufuzi era 2026 asuubirwa okuddamu okwesimbawo ku bwa Pulezidenti omulundi ogwokubiri.

Mu 2021, yavuganya ku bwa Pulezidenti era yakwata kyakubiri.

Akalulu mwalimu abantu 11 omuli

1- Yoweri Museveni, National Resistance Movement

2 – Bobi Wine, National Unity Platform

3 – John Katumba, Independent

4 – Willy Mayambala, Independent

5 – Fred Mwesigye, Independent

6 – Henry Tumukunde, Independent

7 – Joseph Kabuleta, Independent

8 – Nancy Kalembe, Independent

9 – Patrick Oboi Amuriat, Forum for Democratic Change

10 – Mugisha Muntu, Alliance for National Transformation

11 – Norbert Mao, Democratic Party

Pulezidenti Museveni yaddamu okuwangula okulonda n’obululu 6,042,898 (58.38%) ate Bobi Wine yafuna obululu 3,631,437 (35.08%).

Aba NUP bagamba nti 2026, balina okuwangula okulonda kuba Bobi Wine ayongedde okulaga abantu nti betaaga enkyukakyuka.

Ate NRM egamba nti Museveni alina okudda mu kulonda kwa 2026 – https://www.youtube.com/watch?v=ZOn1cW1e1KE

Bya Nakimuli Milly