Abaali bawambiddwa balaze engeri gye bakozesa emisoto okuboogeza

Bangi ku bannansi mu ggwanga lya Nigeria bali mu maziga oluvanyuma lw’amawulire okufuluma nti abatujju mu ggwanga basukkiridde okweyambisa emisoto, okufuna ssente.
Mu Nigeria, abatujju basukkiridde okwenyigira mu kuwamba bannansi n’ekigendererwa eky’okusaba famire zaabwe ssente.
Abatujju balumba ebyalo okuwamba abantu n’okutta nga bakozesa emmundu.
Wabula omu ku bavubuka abaali bawambiddwa kyokka nga yafunye omukisa okutaasibwa, awadde bannansi emboozi era bangi bali mu kutya.
Omuvubuka agamba nti abatujju basukkiridde okweyambisa emisoto, okutisatiisa abantu abawambiddwa.
Agamba nti balina akabira omuli emisoto gy’ebika eby’enjawulo nga singa bawamba omuntu yenna, bamutwala mu kabira omuli emisoto.
Omuvubuka agamba okutya okuli mu kabira, y’emu ku nsonga lwaki bangi ku bantu abawambiddwa, bakubira aba famire amassimu okutunda ebintu byabwe omuli amayumba, emmotoka, n’ebintu ebirala, okusobola okusindiika ssente.
Ku ttivi y’eggwanga, omuvubuka agamba nti bangi ku bantu abawambiddwa bafudde olw’emisoto okubaluma.
Gavumenti egamba nti erina okunoonya abantu bonna, abatujju abaludde nga batigomya eggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=f30cRhz3KF8