Omukyala myaka 20, eyasobezebwako omusirikale Salim Mugoya, ku Poliisi y’e Namaganga mu ggoombolola y’e Busedde mu kibuga Jinja, awanjagidde Gavumenti okumudduukirira okufuna obujanjabi.

Okunoonyereza kulaga nti omukyala yali akwatiddwa ku misango gy’okusuulira bba omwana omuto myaka 2.

Bba w’omukyala yatwala omusango ku Poliisi y’e Namaganga nga 4th, February 2024, ekyavaako omusirikale Mugoya okukwata omukyala.

Omukyala yamala ku Poliisi ennaku 2 okuli 7, ne 8, February, 2024.

Oluvanyuma lw’omukyala ne bba okugonjoola ensonga ku Poliisi, omukyala yayimbulwa.

Oluvanyuma lw’omukyala okudda awaka, yasobola okutegeeza bba nti omusirikale Mugoya yamusobyako mu kiro, bwe yali akwatiddwa.

Abasirikale okuva ku Poliisi e Kakira, baasobola okutwala omukyala mu ddwaaliro lya Busedde Health Center IV okwekebejjebwa.

Mu kiseera nga Poliisi ekyanoonya omusirikale waabwe, nate omukyala eyasobezebwako, agamba nti yetaaga obujanjabi kuba ali mu mbeera mbi.

Omukyala ono, agamba nti omusirikale yamusiba empingu, okumutwala okumusobyako era yamugyamu engoye zonna.

Agamba nti yamukuba batuuni, empi wakati mu kikolwa, yakwata sikaati nagisonseka mu kamwa okumulemesa okuba enduulu wakati n’okumutegeeza nti yakulira ekkomera.

Mungeri y’emu agamba nti yafuna amambwa mu bitundu by’ekyama, avaamu omusaayi, alumwa mu lubuto, ekyongedde okumulemesa okutambuza emirimu gye.

Eddoboozi ly’omukyala

Mu kiseera kino, yetaaga ssente, okuddukira mu ddwaaliro ekkulu e Jinja, okufuna obujanjabi n’okumwekebejja engeri gye yakosebwa munda kuba obulumi busukkiridde.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=f30cRhz3KF8