Poliisi y’e Busoga eri mu kunoonya omukyala Sylvia Nabirye myaka 28, omutuuze ku kyalo Buzimba mu ggoombolola y’e Nawampiti mu disitulikiti y’e Luuka ku misango gy’okutta bba Amos Kivulumwike myaka 35.
Okunoonyereza kulaga nti Nabirye ne Kivulumwike baludde nga balina obutakaanya ng’omukyala alumirizza bba obwenzi nti alina abawala ab’enjawulo ku masomero ag’enjawulo.
Kigambibwa Kivulumwike yakomyewo kiro nnyo awaka kyokka yalemeddwa okuwa mukyala we ensonga yonna lwaki akomyewo kiro, ekyavuddeko okuyomba.
Mbu omukyala yakubye omusajja empi, ekyavuddeko omusajja okugwa ku kitanda.
Amangu ddala Nabirye yakutte bba Kivulumwike ebitundu by’ekyama era yabinyize okutuusa omusajja lwe yafudde.
Mu kiseera kino omulambo gwa Kivulumwike gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu erya Kiyunga Health Center IV okwekebejjebwa.
Hakim Muziru omu ku batuuze, agamba nti omugenzi n’omukyala balina abaana babiri (2) era baludde nga bali mu ssanyu okutuusa mu December, 2023.
Muziru agamba nti mu Nabirye abadde alumirizza bba nti okuva mu December, abadde asukkiridde obwenzi, nga kivudde okuyomba wakati wabwe.

Michael Kasadha


Michael Kasadha, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku ttemu eryo.
Wadde omukyala Nabirye aliira ku nsiko, Poliisi egamba nti alina okunoonyezebwa, atwalibwe mu kkooti ku misango gy’obutemu.

Naye mu Uganda lwaki obutabanguko mu maka bweyongedde?

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=f30cRhz3KF8