Entiisa ebuutikidde abatuuze b’e Lusaka, Makindye, omusirikale wa UPDF bw’akubye mukyala we amasasi, ng’akozesa emmundu ekika kya AK-47 ku ssaawa 7:30AM.

Omukyala Aturinda Pellone, akubiddwa amasasi muganzi we Cpl Andebo Collins emikono gyombi 2 era amangu ddala ng’agudde wansi, omusajja naye yekubye amasasi mukamwa era afiiriddewo.

Munnamaggye Cpl Andebo abadde ayambadde engoye z’abuligyo era asangiriza muganzi we Aturinda ng’agenda kulinya bodaboda, namukuba amasasi.

Omukyala Aturinda Pellone

Omukyala Pellone mukusooka abadde asimatuse ng’akyali mulamu wabula olw’omusaayi omungi ogumuvuddemu, naye amaze nafa nga bakamutuusa mu ddwaaliro e Nsambya.

Oluvanyuma omulambo gw’omukyala gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mulago, awali ogw’omusajja. Cpl Andebo, abadde muganzi we.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi w’amaggye mu ggwanga Col. Deo Akiki, Cpl. Andebo abadde okuuma Hon Kibule era gy’avudde kumakya ga leero, okulumba okutta omukyala.

Okunoonyereza kulaga nti omusajja n’omukyala baludde nga balina obutakaanya, era kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki ettemu likoleddwa.

Wabula mu kwekebejja ekifo, bazudde ebisosonkole by’amasasi 13.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YrsQ_IljqSA