Poliisi mu Kampala eyongedde okunoonyereza ku nsonga y’okutulugunya omwana omuto myaka 6.

Olunnaku olw’eggulo ku Mmande, Poliisi y’e Kasangati yakutte omukyala Safinah Nakakande myaka 27 ne bba Medi Muwonge ku misango gy’okutulugunya omuzukkulu.

Omwana yenna yabadde azimbye ffeesi, alaga nti jjajjaawe, abadde amusiiga kamulali mu bitundu by’ekyama ssaako n’okweyambisa akambe, okumusonseka mu bitundu by’ekyama.

Omwana yenna yabadde ajjudde amabwa mu bitundu by’ekyama nga n’okutambula atambula awenyera.

Mu kunoonyereza okuva olunnaku olw’eggulo, Poliisi egamba nti maama w’omwana ng’ali ku kyeyo, abadde asindika ssente kumpi buli mwezi, ez’okulabirira omwana we.

Mu sitetimenti y’omwana ku Poliisi, agamba nti jjajja Nakakande abadde alina okumusiiga  kamulali buli lunnaku kuba afuka kubuliri.

Agamba nti abadde amukuba empi ssaako n’emiggo mu kiseera ky’okumusiiga Kamulali.

Jjajja Nakakande mu sitetimenti ku Poliisi, agamba nti byonna abadde abikola okuzaamu omuzukkulu empisa era awakanyiza eby’okutulugunya omwana.

Agamba nti kiswaza omwana ku myaka 6, okuba ng’afuka ku buliri, yeyambira mu ngoye, era ng’omukyala omuzadde, abadde alina okumuzaamu empisa.

Mungeri y’emu agamba nti abadde n’omwana okuva mu Febwali, 2023 kyokka wadde wa myaka 6, abadde tasoma.

Ku nsonga ya ffeesi okuzimba, agamba nti nga bali mu kisenge, yamukubye oluyi, omwana natomera ekitanda, nga y’emu ku nsonga lwaki amaaso, gaabadde gazimbye.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti jjajja musajja Muwonge, naye yakwatiddwa oluvanyuma lw’okulaga nti mukyala we talina musango gwonna.

Onyango agamba nti Poliisi yakubidde Muwonge essimu okwebuuza oba ensonga z’omwana azimanyiko era ku ssimu, Muwonge yatabukidde Poliisi okusiba mukyala we abadde akoze obulungi okuzaamu omwana empisa.

Onyango alaga nti ebigambo by’omusajja n’okulaga nti omwana ali mu mbeera nnungi, y’emu ku nsonga lwaki Poliisi yamunoonyeza naye nakwatibwa.

Mu kiseera Poliisi egamba nti abakwate bonna bali ku Poliisi e Kasangati ku misango gy’okutulugunya omwana era essaawa yonna babatwala mu kkooti.

Omwana akyali mu mikono gya Poliisi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=HIsEag5xGhE