Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonya abatemu, abenyigidde mu kutta omuwala omuto.

Omuwala yattiddwa ku kyalo Kiteso Cell mu ggoombolola y’e  Northern city mu kibuga Mbale.

Omulambo gwe, gwasangiddwa ebbali w’ekkubo okumpi n’akatale Kikindu era gwalabiddwa aba bodaboda, wakati mu kukola emirimu gyabwe.

Omu ku batuuze Andrew Wekha, agamba nti omukyala ayinza okuba yattiddwa mu kitundu ekirala, omulambo ne bagusuula mu kitundu kyabwe.

Okwekebejja omukyala eyattiddwa nga tamanyikiddwa ku kyalo kyabwe era kiteeberezebwa, yasobezeddwako oluvanyuma nattibwa.

Wabula Rogers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agamba nti omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mbale, okwekebejjebwa.

Poliisi egamba nti okunoonya abatemu kutandikiddewo.

Ate mu disitulikiti y’e Mayuge Poliisi eri mu kunoonya abasajja basatu (3) ku misango gy’okusobya ku baana abato.

Abaana abaasobezeddwako kuliko ow’e 16 abadde mu P5, 14 abadde mu P4 ne 12 abadde mu P3 ku ssomero lya Lukindu Primary Schoool mu ggoombolola y’e Bukatube.

Mu kiseera kino Ow’e 12, olubuto kati myezi 3, ow’e 16 myezi 4.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo ekya Busoga East Daina Nandaula, agamba nti Poliisi eyingidde mu nsonga ezo okunoonya abasajja ku misango gy’okusobya ku baana.

Abaana bonna bali mu famire emu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YrsQ_IljqSA