Poliisi mu Kampala ekoze ekikwekweeto mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo, mwebakwatidde abantu abasukka 10, abagambibwa okwenyigira mu kumenya amateeka.

Abakwate bagiddwa mu bitundu eby’enjawulo mu Divizoni y’e Kira omuli

– Bweyogerere

– Kikajjo

– Kireka

– Namugongo

– Kyaliwajjala n’ebitundu ebirala.

Abakwate mwemuli abaludde nga bamenya amayumba okutwala ebintu, okuteega abantu mu kkubo, okunyakula amassimu n’obubbi obw’enjawulo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Patrick Onyango, abakwate bali ku Kira Road era basuubira nti leero ku Lwokutaano oba wiiki ejja okubatwala mu kkooti.

Onyango agamba nti abamu ku bakwate basangiddwa n’ensawo z’enjaga era kati bali ku misango gy’okusangibwa n’ ebiragalalagala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YapmB-4d-GU