Abantu 15 battiddwa mu Kkereziya

Abatujju balumbye ekkereziya mu ggwanga lya Burkina Faso era abantu 15 battiddwa ate waliwo abali malwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Ettemu lyakoleddwa olunnaku olw’eggulo mu kiseera ng’abantu bali mu kusaba ku kyalo Essakane mu ssaza lye Oudalan okumpi n’ensala y’eggwanga erya Mali.
Abakulu mu kkereziya bagamba nti abatujju bayinza okuba baavudde mu kabinja ka Islamist militants.
Okusinzira ku kiwandiiko ekyavudde mu busumba bwe Oudalan nga kiteekeddwako omukono Abbot Jean-Pierre Sawadogo, abantu 12 bafiiriddewo ate 3 bafiiridde mu ddwaaliro.
Mungeri y’emu yasabye abantu mu ggwanga lyonna okusabira abantu abaafiridde mu bulumbaganyi ssaako n’abo abali malwaliro.
Mu bitundu bya Burkina Faso eby’enjawulo, bannansi bali mu kutya olw’embeera y’obutujju okuva mu batujju ba al-Qaeda ne Islamic State.
Mu myaka 3, abatujju bazze balumba amakanisa ne Kkereziya era abantu bangi nnyo battiddwa.
Amawanga okuli Burkina Faso, Mali ne Niger zavudde mu mukago gwa ECOWAS era zawadde ensonga ez’enjawulo.
Burkina Faso egamba nti ECOWAS eremeddwa okuyambako mu kulwanyisa obutujju nga y’emu ku nsonga lwaki baavudde mukago.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=UsjbYcq8FRg