Poliisi eyongedde okunoonyereza ku ngeri Omutaka Lwomwa, Yinginiya Daniel Bbosa, abadde omukulu w’ekika ky’Endiga gye yatiddwamu.

Ying Bbosa yakubiddwa amasasi akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande bwe yabadde yakatuuka ku kikomera ky’amakaage mu zzooni y’e Kikandwa e Lungujja mu Lubaga.

Omugenzi Bossa

Yabadde mu mmotoka ekika kya Land Cruiser Nnamba UAH 637X ng’ali ne mukyala we  Gladys Bbosa n’omwana waabwe omuto kyokka ekirungi bo abazigu tebabatusizaako bulabe.

Ying Bbosa yabadde ava mu disitulikiti y’e Mukono ku mukolo gw’okulambula n’okukyalira ku w’essiga Ssekkoba Stephen Sserunkuuma.

Omukolo bwe gwawedde, Bbosa yalinye emmotoka okudda awaka ne famire ye era kigambibwa, abatemu bazze bamulondoola okuva e Mukono okutuusa okumukuba amasasi okumpi n’amakaage.

Abasse Omutaka Bbosa baabadde ku Pikipiki era kigambibwa emmotoka bwe yayimiridde babaggulirewo, omutemu yavudde ku Pikipiki n’akuba Ying Bbosa amasasi n’addamu okubuukira Pikipiki okudduka.

Ekirungi, waliwo aba bodaboda abaabadde okumpi, bwe baawulidde amasasi ne bagoba Pikipiki y’abatemu paka bwe baabakwatidde mu zzooni ya Bulange okumpi n’amaka g’omugenzi Polofeesa Apollo Nsibambi.

Mu kunoonyereza, okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agamba waliwo ebizuuliddwa

– Poliisi eraga nti abatemu baabadde 3.

– Kiraga nti waliwo owa bodaboda eyatomedde abatemu ne bagwa

– Abatemu baasobodde okukyusa ennamba ya Pikipiki okuva UFX 854F okudda UEX 754E.

– Poliisi egamba nti abaziga baabadde 3 era basoose Kupakinga mu bitundu bye Lungujja, omugenzi wabadde ekyamira okudda mu makaage.

– Omugenzi yakubiddwa amasasi 3 ku mutwe.

– Omu ku batemu Sserunkuma Enock yattiddwa era kigambibwa mutuuze we Lungujja.

– Lujja Noah, ali mu ddwaaliro e Mulago nga yafunye ebisago.

– Omutemu ow’okusatu (3) yasobodde okudduka.

– Bali okwekebejja ebifo 3 omuli ekifo webatidde omugenzi, abatemu webasoose okulindira omugenzi, Pikipiki weyagudde n’ekifo awasangiddwa emirambo.

– Poliisi esuubiza okweyambisa kkamera za CCTV z’omu kitundu omuli ez’abatuuze mu kunoonyereza.

– Emmundu y’abatemu ekika kya AK-47 esindikiddwa eri abakugu okwekebejjebwa.

– Enanga agumizza eggwanga ku nsonga y’okunoonya abatemu

Ebirala ebifa mu ggwanga lino Uganda – https://www.youtube.com/watch?v=J2ZS1l2SuIM