Wuuno omusomesa akwatiddwa ku by’okusobya ku mwana wa S1

Poliisi e Kassanda ekutte akulira abasomesa ku misango gy’okudda ku muyizi we namusobyako nga mu kiseera kino omwana ali lubuto.
Ssekayombya Jonathan myaka 34 nga yakulira abasomesa ku Brain Star SS, yakwatiddwa.
Ssekayombya mutuuze mu katawuni k’e Wakayiba mu ggombolola y’e Kalwana mu disitulikiti y’e Kassanda.
Okunoonyereza kulaga nti Ssekayombya yasobya ku mwana eyali mu S1 omwaka oguwedde ku ssomero lye erya Brain Star SS kyokka mu kiseera omwana olubuto lukuze.
SP Racheal Kawala, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala, agamba nti omwana yava mu ssomero mu August, 2023 oluvanyuma lw’okufuna olubuto lwa Ssekayombya.
Nga 26, Febwali, 2024, Poliisi yafunye amawulire nti waliwo omwana eyasobezebwako akulira abasomesa Ssekayombya kyokka abazadde baalemwa okutwala ensonga ku Poliisi.
Oluvanyuma Poliisi yagenze mu bazadde bw’omwana, kwekusanga omwana ng’ali lubuto.
Amangu ddala Poliisi yakutte Ssekayombya era yatwaliddwa ku kitebe kya Poliisi y’e Kassanda ku misango gy’okusobya ku mwana ku fayiro nnamba CRB. 151/2024.
SP Kawala asabye abatuuze okweyambisa Poliisi mu bitundu byabwe ku basajja abali ku misango gy’okusobya ku baana abato.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eDnff7Zzi1U