Okutya kweyongedde mu ggwanga erya Nigeria olw’abatujju okweyongera okuwamba abantu n’okusingira ddala abaana.
Ku lunnaku olw’okuna, abaana abali mu 300 batwaliddwa mu bitundu bye Kuriga okuva ku ssomero ate olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, abaali abali 20 batwaliddwa okuva ku ssomero mu bitundu bye Gada, Sokoto okuli n’abakyala 4.
Omubaka w’ekitundu Bashir Usman Gorau, agamba nti baana batwaliddwa obudde bw’okumakya.
Gavana w’ekitundu Kaduna, Uba Sani, agamba nti ku baana abali 300 abatwaliddwa ku Lwokuna, 28 basobodde okudduka, okudda awaka.
Okunoonyereza kulaga nti abatujju bazze ku ssomero nga bakutte eby’okulwanyisa omuli emmundu nga bali Pikipiki ne batwala abaana ba ‘Primary ne Secondary’ abali wakati w’emyaka 8-15.
Mu kiseera kino Poliisi n’amaggye bakola kyonna ekisoboka okutaasa abaana nga batandiise okuyingira ekibira comb mu Kaduna, okulaba oba banaasobola okutaasa abamu ku baana.
Kigambibwa bangi ku baana mu bitundu bye Kaduna alina omwana eyatwaliddwa era mu kiseera kino bali mu maziga.
Mu kulumba essomero, omwana omu ali mu myaka 14 yakubiddwa amasasi era yafiiridde mu ddwaaliro.
Abamu ku batuuze bagamba nti abatujju bazze bawamba abaana nga basaba ssente era kigambibwa ne ku mulundi guno, Gavumenti erina okuwaayo ssente, abaana okuyimbulwa oba abazadde okwekolamu omulimu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=e3Q6e7woPks&t=4s