Abakesi b’ekitongole kya CID enkya ya leero, batutte mu kkooti ya Mwanga 2 abantu 5, abali ku misango gy’okutta Eng. Kakeeto Daniel Bbosa.
Eng. Bbosa yeyali omukulu w’ekika ky’Endiga nga yakubwa amasasi agaamutirawo, okumpi n’amakaage mu zzooni y’e Kikandwa e Lungujja mu Lubaga nga 25, Febwali, 2024.
Abatwaliddwa mu kkooti kuliko
1- Lujja Noah myaka 24, nga mutuuze ku kyalo Kabanga mu Tawuni Kanso y’e Mpigi, eyasimatuka okuttibwa Eng. Bbosa lwe yattibwa.
2- Nakiguli Harriet myaka 40, nga mutuuze mu Nkere Zone, e Kawempe.
3 – Nakabale Joseph myaka 47 nga musiizi wa langi ku kyalo Gala mu Tawuni Kanso y’e Mpigi
4 – Mayanja Ezra, nga mutuuze mu Kiganda Zone e Kawempe
5 – Naluwenda Milly myaka 46 nga muwandiisi mu kkooti ya Kisekwa era mutuuze ku kyalo Kitunzi zone 7 mu Rubaga.
Mu kkooti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Caroline Mpumwire, lusabya omulamuzi Adam’s Byarugaba okubongera akadde okutuusa nga bafundikidde okunoonyereza.
Omulamuzi Byarugaba asindise ku limanda bonna aba 5 okutuusa nga 4, April, 2024.
Wadde 5, batwaliddwa mu kkooti, Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti okunoonya abantu bonna abali mu lukwe lw’okutta Eng. Bbosa kukyagenda maaso era asabye abantu bonna abalina amawulire, okuyamba ku Poliisi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=im90Byh59lo