Abakungu abakozi ba disitulikiti y’e Bugiri 11 basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okubulankanya ensimbi akawumbi kamu n’obukadde 200 ezaali emisaala gy’abasomesa mu kiseera eky’okulwanyisa Covid-19.
Abasindikiddwa ku limanda kuliko
Ezakuru Kazimiro eyali avunaanyizibwa ku by’emirimu oba CAO ,
Mustapha Nyende – avunaanyizibwa ku by’ensimbi ku disitulikiti y’e Bugiri , Minsa Atoire ssaako ne Fred Bazibu – Babalirizi babitabo .
Abalala kuliko Henry Kabulo – avunanyizibwa ku byenjigiriza
Haruna Kamba – amyuka CAO mu disitulikiti y’e Bugiri.
Paul Moses Isiko avunanyizibwa ku by’enkulaakulana
Fred Ikaaba – yinginiya wa distulikiti ne Muhammad Kyonda – avunaanyizibwa ku by’okujjiteekerateekera disitulikiti y’e Bugiri.
Bonna 11, baakwatiddwa ekitongole kya Kalisoliiso wa Gavumenti akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande, nga kivudde ku basomesa okwemulugunya ssaako n’abakozi abalala ku misaala gyabwe gye batafuna.
Okunoonyereza kulaga nti emisango gino bagizza wakati wa march 2019 ne Decemba wa 2022 era balagiddwa okudda mu kkooti weiiki ejja ku Lwokuna nga 21, omwezi guno Ogwokusatu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=QLePs6r-eVk