Balaam agumizza Bobi Wine

Kyaddaki akakiiko ka Palamenti akasunsula abantu abaloondeddwa omukulembeze w’eggwanga lino, kasunsudde Baminisita abaalondeddwa Pulezidenti Yoweri Museveni wiiki ewedde ku Lwokutaano.

Baminisita kuliko

Florence Wamala Nambozo – Minisita omubeezi mu offiisi ya Ssaabaminisita, Karamoja

Balaam Barugahara – Minisita w’abavubuka n’abaana

Dr Kenneth Omona – Minisita omubeezi mu offiisi ya Ssaabaminisita ow’ensonga z’omu mambuka

Phionah Nyamutoro – Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obugagga eby’omu ttaka

Gen Wilson Mbadi – Minisita omubeezi  ow’ebyobusuubuzi n’ebibiina by’obwegassi

Lillian Aber – Minisita omubeezi mu offiisi ya Ssaabaminisita ow’ebigwa bitalaze.

Bonna abalondeddwa, basuubiza okukola emirimu n’omutima gumu.

Balaam Barugahara asuubiza okwenyigira mu kulwanyisa abasajja abeyongedde okusobya ku baana abato n’okubatikka embutto.

Agamba abaana abato okweyongera okufuna embutto, kyongera okusanyalaza enkulakulana y’abantu.

Balaam era agamba nti agenda n’okuyamba abavubuka bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) abaakwatibwa singa abakulembeze baabwe banavaayo nga basaba okuyambibwa.

Agamba asuubiza okutegeeza omukulembeze w’eggwanga nti bangi ku bavubuka abali makkomera babawabya nga y’emu ku nsonga lwaki mu kiseera kino betaaga okuyambibwa okuva mu kkomera.

Balaam agamba nti tagenda kulwanyisa NUP wadde okukkiriza omuntu yenna okutwala ebyobufuzi mu kisinde kyabwe ekya Patriotic League of Uganda (PLU) kuba baliwo kuweereza ggwanga.

Nga Minisita asuubiza okukola ennyo okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu ggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ryo-lRCFvI0&t=1s