Abaana bakutte nnyabwe wakati mu kikolwa

Poliisi y’e East Kyoga n’ekitebe kya Poliisi e Bukedea, bali mu kunoonya ab’oluganda 2 ku misango gy’okwagala okutta nnyabwe.
Abanoonyezebwa kuliko Ononge ne Opio nga bonna batuuze ku kyalo Akaramai mu muluka gwe Kamom mu disitulikiti y’e Bukedea.
Bali ku misango gy’okwagala okutta Asikeit Melidah bwe yasangiddwa ng’ali mu kaboozi n’omusajja omulala Omerikol Joseph ku buliri bwa kitaabwe.
Kitaabwe Ogwang Isaac musajja musomesa era asula ku ssomero.
Ku Lwokusatu nga 20, March, 2024, ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, abaana okutuuka awaka nga nnyabwe ali kwesa mpiki n’omusajja, ekyabatabudde.
Maama n’omusajja batemeddwa ebiso era amangu ddala batwaliddwa mu ddwaaliro lya Bukedea Health Centre IV nga bali mu mbeera mbi.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti kikyamu abaana okweyingiza mu nsonga z’abazadde.
Agamba nti buli mwana yenna alina okuwa abazadde ekitiibwa wadde kikyamu ate nnyabwe okudda mu bwenzi mu nnyumba ya kitaabwe.
Enanga agamba nti wadde abaana baliira ku nsiko, baguddwako emisango gy’okwagala okutta nnyabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ryo-lRCFvI0&t=1s