Omuyizi wa S2 akubiddwa ppeeva ku mutwe emuttiddewo
Abatuuze mu zzooni ya Ssebagala mu Kansanga, Makindye, bali mu kiyongobero olw’abantu abatamanyiddwa okutta omwana waabwe.
Omwana Kato Raymond abadde mu gy’obukulu 16, yakubiddwa ppeeva ku mutwe ku Ssande ku makya bwe yabadde akedde okukola dduyiro.
Aba famire, bagamba nti Kato ng’abadde S2 ku Kansanga Seed School, yabadde akedde kukola dduyiro, abasajja abamu kw’abo abakeere okutigomya abatuuze nga bali mu ggaali ne bamuzingiza mu kakuubo.
Yabadde atadde ‘ear Phones’ mu matu ng’adduka okugenda ku kisaawe e Kansanga kyokka badde asemberedde okutuuka nga n’ekisaawe akirengerako, ne bamukuba ppeeva eyamwasizza omutwe.
Abatuuze ne famire okuteegera nti omwana waabwe akubiddwa ng’ali mu mbeera mbi, era amangu ddala yatwaliddwa mu kalwaliro akali ku kyalo, weyagiddwa okutwalibwa e Kiruddu.
Kato yabadde mu mbeera mbi nnyo era oluvanyuma yatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okwekebejja omutwe kuba yabadde akoseddwa nnyo.
Mu ddwaaliro e Mulago, kyazuuliddwa nti omusaayi gwatuuse dda mu bwongo kuba yakubiddwa nnyo era oluvanyuma yafiiridde mu ddwaaliro.
Abatuuze ne famire wakati mu kiyongobero bawanjagidde ekitongole ekya Poliisi okuyamba okunoonya eggaali z’ababbi, eziri mu kitundu kyabwe.
Ate abakulembeze b’oku kyalo omuli Kasasira Joseph – Ssentebe wa Ssebagala Zzooni, Sseguya Ssepuuya Francis – Ssentebe LC 2 Kansanga, bagamba nti ekiri mu kyalo kati kika kuba okutta abantu kweyongedde era bangi banyiga biwundu batemeddwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bL4905VtfZA