Omuvubuka Ibrahim Musana amanyikiddwa nga Pressure Pressure 24 /7, aweddemu essuubi ly’okuva mu kkomera e Luzira, era azziddwa ku limanda okutuusa nga 11, April, 2024.

Pressure Pressure yakwatibwa nga 17, February, 2024 ku misango gy’okweyambisa emitimbano omuli Tiktok okuvoola Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Pulezidenti Museveni, sipiika wa Palamenti Anita Among ssaako n’abakulembeze abalala, wakati wa August, 2023 ne February, 2024 mu Kampala.

Nga 15, March, 2024, omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ronald Kayizzi, yagoba okusaba kwe okweyimirirwa, olw’abantu beyaleeta obutaba n’amaka webayinza okusangibwa.

Enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Kyazze, bazzeemu okutegeeza omulamuzi Kayizzi nti bakyanoonyereza naye nga basemberedde okufundikira.

Mu kkooti, Pressure Pressure aloopedde omulamuzi Kayizzi nti yagibwako omusaayi ate nga si mulwadde wabula amangu ddala, ekitongole ky’amakkomera mu kwewozaako, bagamba nti buli musibe, alina okugibwako omusango, okuzuula obulamu webuyimiridde.

Wadde byonna byogeddwa, Pressure 24 azziddwa ku limanda okutuusa nga 11, April, 2024.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=f30cRhz3KF8&t=4s