Kkooti etaputa amateeka  enkya ya leero, lwegenda okuwa ensala  yaayo  ku musango  abalwanirizi eddembe ly’abebisiyaga n’abasiyazi  gwe baatwala mu kkooti, nga bawakanya etteeka, eryayisibwa Palamenti omwaka oguwedde, erigendereddwamu okulwanyisa ebisiyaga.

Okusinzira ku kiwandiiko ekyaweereddwa enjoyi zombi okuli Kampuni za bannamateeka 11 eziwolereza abasiyazi ssaako ne ssaabawolereza wa gavumenti, kkooti egenda kuwa ensala yaayo ku ssaawa 4 ez’okumakya.

Kinajjukirwa nti 18, December, 2023, abalamuzi nga bakulembeddwamu amyuka ssaabalamuzi Richard Buteera ssaako n’abalamuzi abalala okuli Geoffrey Kiryabwire

Muzamiru Kibeedi

Monica Mugenyi, ssaako ne

Christopher Gashirabake, bafundikira okuwuliriza ensonga ezo era ne basuubiza okuwa  ensala yaabwe gye bujja.

Abamu kwabo abaddukira mu kkooti nga bawakanya etteeka, nga banokolayo ensonga omuli okusosola abasiyazi mwe muli omubaka  wa  West Budama  Fox Odoi,  abasomesa okuva ku Yunivasite e Makerere mu Dipatimenti y’amateeka okuli Professor Sylvia Tamale ne  Dr. Busingye Kabumba saako  munnamatteeka, omulwanirizi w’eddembe  Nicholas Opio.

Mu kkooti, baasaba abalamuzi etteeka ku bisiyaga okusazibwamu naddala ng’abantu abeenyigidde mu kulya ebisiyaga bakulu ekimala ate nga bakiriziganyiza.

Bagamba nti etteeka lino nga ogyeko  okubeera n’ebibonerezo ebikambwe, omuli okutta abenyigidde mu kulya ebisiyaga n’omutango omunene , ekityoboola eddembe ly’obuntu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=3RlTPVnyMCg