Poliisi kati erina abantu 3 ku by’okuwamba n’okutta omwana Ayikolu Patricia myaka 8 mu disitulikiti y’e Nakaseke
Omwana abadde mu P1 ku Ngoma Church of Uganda, Primary School, yawambibwa nga 21, March, 2024.
Ku lunnaku olwo, yava ewaka nga buligyo okugenda ku ssomero nga ne kitaawe Taban Vincent, omusomesa ku ssomero lya muwala we Ngoma Church of Uganda ku kyalo Kasambya mu Tawuni Kanso y’e Ngoma.
Ku ssaawa 7 ez’okulya eky’emisana, mwana Patricia ng’ali ne banne 2 okuli Lesu Aaron ne Matiya nga bonna bali P1 basiimbula ku ssomero okudda awaka okulya eky’emisana.
Nga bagenda, kwe kusanga omusajja eyabasaba okumuyamba okugoba enkoko.
Omusajja yawa abaana Lesu ne Matiya ssente shs 2,000 okulindako munaabwe (Patricia), gwe yatwala okumuyambako okugoba enkoko wabula omwana teyadda.
Oluvanyuma lw’ennaku 3, Poliisi yazuula omulambo gw’omwana nga yasalibwamu olulimi, omutwe gwali gwasiddwa ne batwala obwongo, olw’ensonga ezitamanyiddwa.
Wadde Poliisi egaanye okwatuukiriza amannya g’abantu abakwate, egamba nti aba 3, bagenda kuyambako nnyo mu kunoonyereza kwabwe.
Omwana abadde abeera ne nnyina omuto oluvanyuma lwa nnyina okufuna obutakaanya ne kitaawe ne bawukana.
Fred Enanga, agamba nti bagenda kukola kyonna ekisoboka, okunoonya abantu bonna abali mu kikolwa ekyo, n’okuzuula lwaki kyakolebwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=3RlTPVnyMCg&t=6s